Yobu 20:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Bw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma,
akasaale ak’ekikomo kalimufumita.
Isaaya 24:17-18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
mmwe abantu b’ensi.
18 (B)Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
alikwatibwa mu mutego.
Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
N’emisingi gy’ensi gikankana.
Yeremiya 15:2-3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’
“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’
3 (B)“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza.
Read full chapter
Yeremiya 48:44
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
44 (A)“Buli alidduka entiisa
aligwa mu bunnya,
n’oyo aliba avudde mu bunnya
alikwatibwa omutego;
kubanga ndireeta ku Mowaabu
omwaka gw’okubonaabona kwe,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.