Yeremiya 4:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yuda Erumbibwa
5 (A)“Kirangirire mu Yuda
era okitegeeze mu Yerusaalemi ogambe nti,
‘Mufuuwe ekkondeere mu nsi yonna!
Mulangirire nga mugamba nti, Mukuŋŋaane,
tuddukire mu bibuga ebiriko ebigo!’
Yoweeri 2:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
mulangirire okusiiba okutukuvu.
Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
Yoweeri 1:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Zitusanze olw’olunaku luli!
Kubanga olunaku lwa Mukama olw’entiisa lusembedde.
Lulijja, ng’okuzikiriza
okuva eri Ayinzabyonna.
Zeffaniya 1:14-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olunaku lwa Mukama Olukulu
14 (A)Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
15 (B)Olunaku olwo lunaku lwa busungu,
lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,
lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,
olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,
olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
16 (C)olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo
ku bibuga ebiriko ebigo
n’eri eminaala emigulumivu.
Obadiya 15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira
amawanga gonna omusango.
Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa.
Ebikolwa byammwe biribaddira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.