Okuva 27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ekyoto
27 (A)“Zimba ekyoto mu miti gya akasiya, obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, n’obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. 2 (B)Era ku nsonda zaakyo ennya kolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe bibajjiddwa bumu mu muti gumu; ekyoto kyonna olyoke okibikkeko ekikomo. 3 Kola ebbakuli omunaayoolerwanga evvu lyakyo, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni; ebyo byonna nga bikolebwa mu kikomo. 4 Ekyoto kikolere ekitindiro eky’obutimba eky’ebyuma eby’ekikomo; ku nsonda ennya ez’ekitindiro olyoke okolereko empeta nnya ez’ekikomo. 5 Leebeeseza ekitindiro ekyo mu kyoto, nga waggulu kinyweredde ku muziziko ne kireebeeta okukoma wakati ng’ekyoto bwe kikka. 6 Kola emisituliro gy’ekyoto mu muti gwa akasiya, ogibikkeko ekikomo. 7 Emisituliro egyo ogiyingize mu mpeta ennya, gibeere ku njuyi zombi ez’ekyoto nga kibadde kisitulwa okubaako gye kitwalibwa. 8 (C)Ekyoto kikole n’embaawo, nga wakati kya muwulukwa. Okikole nga bwe kyakulagibwa ku lusozi.
Oluggya
9 “Eweema ya Mukama gikolere oluggya. Ku ludda olwa ddyo oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, era nga lulina amagigi aga linena omulebevu alangiddwa, 10 n’entobo amakumi abiri n’ebikolo ebikondo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri; nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11 Ne ku ludda olwakkono oluggya lubeere mita ana mu mukaaga obuwanvu, era ebeeyo amagigi n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo zaabyo eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza.
12 “Ku ludda olw’obugwanjuba oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi, era lubeere n’amagigi n’ebikondo kkumi awamu n’entobo zaabyo kkumi. 13 Ku ludda olw’ebuvanjuba, enjuba gy’efulumira, nayo oluggya lubeere mita amakumi abiri mu ssatu obugazi. 14 Ku ludda olumu olw’omulyango kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu, 15 ne ku ludda olulala nakwo kubeereko amagigi mita mukaaga ne desimoolo mwenda obuwanvu, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu.
16 “Mu mulyango oguyingira mu luggya wanikamu eggigi mita mwenda obuwanvu, nga lya wuzi za bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena endebevu ennange, nga bikolebwa omutunzi omukugu, era ng’eggigi lirina ebikondo bina n’entobo zaabyo nnya. 17 Ebikondo byonna mu luggya bibeere n’emikiikiro gya ffeeza, n’amalobo ga ffeeza, n’entobo za kikomo. 18 Oluggya lubeere mita amakumi ana mu mukaaga obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ssatu, n’amagigi aga linena endebevu ennange, mita bbiri ne desimoolo ssatu obugulumivu, n’entobo ez’ekikomo. 19 Ebintu ebirala byonna ebinaakozesebwa ku mirimu gya Weema egya buli ngeri, ng’otaddeko n’obukondo obukomerera Weema n’obw’omu luggya, byonna bibeera bya kikomo.
Amafuta g’Ettaala
20 “Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’emizeeyituuni amalungi ennyo ag’okukozesa mu ttaala, eryoke eyakenga obudde bwonna nga tezikira. 21 (D)Mu kisenge kya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ebweru w’eggigi eribisse Endagaano, awo Alooni ne batabani be we banaabeeranga nga balabirira ettaala eyakirenga awali Mukama okuva olweggulo okutuusa mu makya. Lino libeere tteeka abaana ba Isirayiri lye banaakwatanga emirembe gyonna.”
Exodus 27
New King James Version
The Altar of Burnt Offering(A)
27 “You shall make (B)an altar of acacia wood, five cubits long and five cubits wide—the altar shall be square—and its height shall be three cubits. 2 You shall make its horns on its four corners; its horns shall be of one piece with it. And you shall overlay it with bronze. 3 Also you shall make its pans to receive its ashes, and its shovels and its basins and its forks and its firepans; you shall make all its utensils of bronze. 4 You shall make a grate for it, a network of bronze; and on the network you shall make four bronze rings at its four corners. 5 You shall put it under the rim of the altar beneath, that the network may be midway up the altar. 6 And you shall make poles for the altar, poles of acacia wood, and overlay them with bronze. 7 The poles shall be put in the rings, and the poles shall be on the two sides of the altar to bear it. 8 You shall make it hollow with boards; (C)as it was shown you on the mountain, so shall they make it.
The Court of the Tabernacle(D)
9 (E)“You shall also make the court of the tabernacle. For the south side there shall be hangings for the court made of fine woven linen, one hundred cubits long for one side. 10 And its twenty pillars and their twenty sockets shall be bronze. The hooks of the pillars and their bands shall be silver. 11 Likewise along the length of the north side there shall be hangings one hundred cubits long, with its twenty pillars and their twenty sockets of bronze, and the hooks of the pillars and their bands of silver.
12 “And along the width of the court on the west side shall be hangings of fifty cubits, with their ten pillars and their ten sockets. 13 The width of the court on the east side shall be fifty cubits. 14 The hangings on one side of the gate shall be fifteen cubits, with their three pillars and their three sockets. 15 And on the other side shall be hangings of fifteen cubits, with their three pillars and their three sockets.
16 “For the gate of the court there shall be a screen twenty cubits long, woven of blue, purple, and scarlet thread, and fine woven linen, made by a weaver. It shall have four pillars and four sockets. 17 All the pillars around the court shall have bands of silver; their (F)hooks shall be of silver and their sockets of bronze. 18 The length of the court shall be one hundred cubits, the width fifty throughout, and the height five cubits, made of fine woven linen, and its sockets of bronze. 19 All the utensils of the tabernacle for all its service, all its pegs, and all the pegs of the court, shall be of bronze.
The Care of the Lampstand(G)
20 “And (H)you shall command the children of Israel that they bring you pure oil of pressed olives for the light, to cause the lamp to [a]burn continually. 21 In the tabernacle of meeting, (I)outside the veil which is before the Testimony, (J)Aaron and his sons shall tend it from evening until morning before the Lord. (K)It shall be a statute forever to their generations on behalf of the children of Israel.
Footnotes
- Exodus 27:20 Lit. ascend
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Scripture taken from the New King James Version®. Copyright © 1982 by Thomas Nelson. Used by permission. All rights reserved.
