Danyeri 3:19-27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Awo Nebukadduneeza ne yeeyongera okusunguwalira Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’amaaso ge ne gaba masunguwavu nnyo ng’ajjudde obuswandi. N’alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga ne bwe kyali kyase. 20 N’alagira abamu ku baserikale be ab’amaanyi okusiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’oluvannyuma basuulibwe mu kikoomi ekyaka omuliro. 21 Amangwago ne basiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nga bambadde ebyambalo byabwe eby’ekitiibwa, ne seruwale zaabwe, n’eminagiro gyabwe n’engoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. 22 (B)Olw’okubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga n’ekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ez’omuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego. 23 Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa.
24 Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya n’agolokoka mangu n’abuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?”
Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.”
25 N’ayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so n’owookuna ng’afaanana ng’omwana wa bakatonda.”
26 (C)Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’ekikoomi ekyaka omuliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.”
Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro. 27 (D)Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.