Add parallel Print Page Options

(A)Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’ ”

(B)Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri.

(C)Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu.

Read full chapter