Второзаконие 10
Bulgarian Bible
10 В онова време Господ ми каза: Издялай си две каменни плочи, като първите, и възкачи се при Мене на планината; направи си и дървен ковчег.
2 И Аз ще напиша на плочите думите, които бяха на първите плочи, които ти строши; а ти да ги туриш в ковчега.
3 Прочее, направих ковчега от ситимово дърво, издялах две каменни плочи, като първите и се възкачих на планината с двете плочи в ръцете си.
4 И Той написа на плочите, както бе написано по-напред, десетте заповеди, които Господ ви изговори на планината изсред огъня, в деня когато се събрахте там ; и Господ ги даде на мене.
5 Тогава се обърнах и слязох от планината, и турих плочите в ковчега, който направих; и там те се намират, според както Господ ми заповяда.
6 (След това израилтяните отпътуваха от Вирот-Венеякан до Мосера. Там умря Аарон, и там бе погребан; а синът му Елеазар свещенодействува вместо него.
7 От там отпътуваха до Гадгад, и от Гадгад до Иотвата, земя богата с водни потоци.
8 В онова време Господ отдели Левиевото племе да носи ковчега за плочите на Господния завет, да стои пред Господа, за да Му слугува и да благославя в Името Му, както прави до днес;
9 по която причина левийците нямат дял или наследство между братята си; Господ им е наследство, според както Господ, твоят Бог им обеща).
10 А аз преседях на планината, както първия път, четиридесет дена и четиридесет нощи; па и тоя път Господ ме послуша, като склони Господ да не те погуби.
11 Тогава Господ ми каза: Стани, предвождай тия люде, за да влязат да притежават земята, за която съм се клел на бащите им да я дам на тях.
12 А сега, Израилю, какво иска от тебе Господ твоят Бог, освен да се боиш от Господа твоя Бог да ходиш във всичките Му пътища да Го любиш и да слугуваш на Господа твоя Бог с цялото си сърце и с цялата си душа,
13 та да пазиш заповедите на Господа и повеленията Му, които днес ти заповядвам за твое добро?
14 Ето, небето на небесата, земята и всичко що е на нея принадлежи на Господа твоя Бог,
15 обаче само бащите ти предпочете Господ и ги възлюби, и измежду всичките племена избра вас, потомството им по тях, както виждате днес.
16 Обрежете, прочее, краекожието на сърцето си и не бивайте вече коравовратни.
17 Защото Иеова вашият Бог е Бог на боговете и Господ на господарите, великият, мощният и страшният Бог, Който не гледа на лице, нито приема дар;
18 Който извършва съдба за сирачето и за вдовицата и обича чужденеца, като му дава храна и облекло.
19 Обичайте, прочее, чужденеца, защото и вие сте били чужденци в Египетската земя.
20 От Господа твоя Бог да се боиш, Нему да слугуваш, Нему да бъдеш привързан и в Неговото име да се кълнеш.
21 Той е с Когото трябва да се хвалиш и Той е твоят Бог, Който извърши за тебе тия велики и страшни дела, които очите ти видяха.
22 Бащите ти слязоха в Египет на брой седемдесет души; а сега Господ твоят Бог те направи многочислен, като звездите на небето.
Ekyamateeka Olwokubiri 10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebipande eby’Amayinja Ebyokubiri Okwawandiikwa Amateeka
10 (A)Mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tema mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja ebifaanana nga biri ebyasooka, era obajje n’Essanduuko ey’omuti, olyoke oyambuke gye ndi ku lusozi. 2 (B)Nzija kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande ebyasooka, bye wayasa; olyoke obiteeke mu Ssanduuko.”
3 (C)Bwe ntyo ne mbajja Essanduuko mu muti ogw’akasiya, ne ntema ne mu jjinja ebipande bibiri eby’amayinja nga bifaanana nga biri ebyasooka, ne ndyoka nyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande byombi mu ngalo zange. 4 (D)Mukama Katonda n’awandiika ku bipande ebyo ebigambo bye yali awandiise ku bipande biri ebyasooka, ge Mateeka Ekkumi ge yali abalangiridde ku lusozi ng’ali wakati mu muliro, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Mukama Katonda n’abinkwasa. 5 (E)Bwe ntyo ne nkyusa obuwufu ne nzikirira okuva ku lusozi, ebipande ne mbiteeka mu Ssanduuko gye nabajja, nga Mukama Katonda bwe yandagira, ne kaakano mwe biri.
6 (F)Abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Beeru Beneyaakani ne batuuka e Mosera. Awo Alooni we yafiira era we yaziikibwa. Mutabani we Eriyazaali n’amusikira n’atandika okukola emirimu gya Alooni egy’Obwakabona. 7 (G)Bwe baava awo ne batambula okutuuka e Gudugoda; bwe baava e Gudugoda ne batuuka e Yotubasa, nga mu nsi eyo mulimu emigga egyali gikulukuta amazzi. 8 (H)Mu kiseera ekyo Mukama n’ayawula ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso ga Mukama Katonda, n’okwatulanga emikisa gye mu linnya lye, nga bwe bakyakola n’okutuusa leero. 9 (I)Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu eky’obusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe ab’ebika ebirala bwe baafuna; kubanga Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wo bwe yabagamba.
10 (J)Nabeerayo ku lusozi ne mmalayo ennaku amakumi ana, emisana n’ekiro, ng’omulundi guli ogwasooka. Ne ku mulundi guno Mukama yampuliriza. Mukama Katonda yali tayagala kukuzikiriza. 11 Mukama n’aŋŋamba nti, “Genda okulembere abantu, bakwate olugendo lwabwe, bayingire mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe okugibawa, bagyefunire.”
Ebikulu Katonda bye Yeetaaga
12 (K)Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna, 13 n’okugonderanga amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo?
14 (L)Laba, Mukama Katonda wo ye nannyini ggulu, era n’eggulu erisinga okuba waggulu ennyo nalyo lirye, n’ensi ne byonna ebigirimu. 15 (M)Kyokka era Mukama yakwana bajjajjaabo n’abaagala nnyo, ne yeerondera mmwe, bazzukulu baabwe, okubeera ku ntikko y’amawanga gonna nga bwe kiri leero. 16 (N)Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera n’amawagali. 17 (O)Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi. 18 (P)Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala. 19 (Q)Kale nno, mwagalenga bannamawanga kubanga nammwe mwaliko bannamawanga mu nsi ey’e Misiri. 20 (R)Otyanga Mukama Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mw’onoolayiriranga. 21 (S)Oyo, lye ttendo lyo era ye Katonda wo, eyakukolera ebyamagero ebyo byonna ebikulu ggwe kennyini bye weerabirako n’amaaso go. 22 (T)Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano Mukama Katonda wo abafudde bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.