Ebikolwa by’Abatume 20:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 9:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 9:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 23:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olukwe Okutta Pawulo
12 (A)Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo!
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 23:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 23:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 25:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 Ne bamwegayirira abayambe atumye Pawulo aleetebwe mu Yerusaalemi, kubanga baali bategeka bamuttire mu kkubo.
Read full chapter
2 Abakkolinso 11:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi k’omujjuzo gw’emigga, ne mpona n’akabi ak’abanyazi, n’empona ab’eggwanga lyange, era n’Abamawanga abalala. Nayolekera obubenje obw’omu kibuga, ne mpona n’okufiira mu ddungu ne mu muyaga ogw’oku nnyanja, ne mpona n’akabi ak’abantu abeeyita abooluganda;
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 16:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.