2 Ebyomumirembe 36:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya n’embiri zonna, ne bazikiriza n’ebintu eby’omuwendo byonna.
Read full chapter
Yeremiya 21:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’
Read full chapter
Yeremiya 37:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Abakaludaaya bakomewo balumbe ekibuga kino; bajja kukiwamba bakyokye.’
Read full chapter
Yeremiya 37:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.”
Read full chapter
Yeremiya 52:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Nebukadduneeza n’ayokya yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna eky’omugaso n’akyokya.
Read full chapter
Yeremiya 19:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ”
Read full chapter
Yeremiya 44:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Naye okuva lwe twalekeraawo okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa, tetubadde na kantu konna era tubadde tuzikirira n’ekitala n’enjala.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.