2 Basessaloniika 3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okusabirwanga
3 (A)Abooluganda, eky’enkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bw’agulumizibwa mu mmwe, 2 (B)tulyoke tununulibwe okuva mu bakozi b’ebibi, kubanga si bonna abakkiriza. 3 (C)Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza mmwe era anaabawonyanga Setaani. 4 (D)Era twesiga nga Mukama waffe, abakozesa ebyo bye twabayigiriza era nga munaabikolanga bulijjo. 5 (E)Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe mu kutegeera okwagala kwa Katonda, n’obugumiikiriza obuva eri Kristo.
Abalabula obutagayaalanga
6 (F)Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo. 7 (G)Kubanga mmwe bennyini mumanyi bulungi bwe kibagwanira okutugobereranga ng’ekyokulabirako kyammwe, kubanga temwatulaba nga twegomba okulya ebyo bye tutakoleredde, 8 (H)tetwakkiriza kulya mmere ya muntu yenna awatali kumusasula. Twafubanga nnyo ne tukoowa nga tukola emirimu emisana n’ekiro tulyoke tufunemu bye twetaaga okukozesa, era tuleme kuzitoowerera muntu n’omu ku mmwe. 9 (I)Si kubanga tetwalina buyinza okubagamba mmwe okutuliisa, naye twayagala mutulabireko nga bwe kibagwanidde okukolanga. 10 (J)Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.
11 (K)Kyokka tuwulira nti mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo. 12 (L)Mu linnya lya Mukama waffe, tubeegayirira era tubakuutira abali bwe batyo, okukolanga emirimu n’obunyiikivu n’obuteefu balyoke balyenga ebyo bye bakoleredde. 13 (M)Naye mmwe temukoowanga kukola bulungi abooluganda abaagalwa.
14 (N)Era omuntu yenna bw’atagonderanga biragiro byaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegereze, muleme kukolagananga naye, ensonyi ziryoke zimukwate. 15 (O)So temumuyisanga nga mulabe wammwe naye mumubuulirirenga ng’owooluganda eyetaaga okulabulwa.
Eky’enkomerero
16 (P)Kale Mukama nannyini mirembe abawenga emirembe mu byonna. Mukama abeerenga nammwe mwenna.
17 (Q)Kuno kwe kulamusa kwange, nze Pawulo, mu mukono gwange, bwe ntyo bwe nkola ku nkomerero z’ebbaluwa zange zonna okulaga nti zivudde gye ndi. Bwe nti bwe mpandiika.
18 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.