Okubikkulirwa 12:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Read full chapter
Isaaya 30:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
Yeremiya 19:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.