Zabbuli 4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
4 (A)Bwe nkukoowoola onnyanukule,
Ayi Katonda wange omutuukirivu.
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.
Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.
2 (B)Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?
Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
3 (C)Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.
Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.
4 (D)Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,
mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
5 (E)Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;
era mwesigenga Mukama.
6 (F)Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,
otumulisize omusana gw’amaaso go.”
7 (G)Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.
8 (H)Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;
kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,
ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.